Robber

Lyrics: Shemy Hassan Ono music leero nkubye ka ba-OG Si ka bayoung G Wabula leero ka tuwulire ku mboozi za bastreet robbers Okitegeera mwana?
Ya zzikole mu city nga mubbi kkondo Akwambulira ku street bw'ogaana akkuba ennyondo Ganga kkuubwa muntu nsolo ayita n'ekibondo Alina knuckle ezikaluba, bw'akkuba akwasa ennyindo Mu school of Cool, yakuguka kuggula kkufulu Yalina toolbox, mu shape ya boombox Yayokyanga ekisada, ne yeesiiga evvu Yalina kibbiibbi, buli lunaku ng'akikuba empi Okumutokoseza akatogo, akalimu senjenge Ba-ugandampolya, yabalwazanga Polio Bwe bajjanga okumulya, yalinga night stormer Bw'otambuza ebigere ekiro, akuleka totoma Yalina enjombo: 'Bwe nfuna embi, ekira obwavu' Ne bw'oba ggwe wamuwoze, era ggwe omusasula Nga ne bakkyali be bennyini, abayuuzayuuza Nga balugu atanywedde mu kitooke
Robber Nga yali ayiiya nnyo Robber Ng'obubbi bwe bususse nnyo Robber Baamukwata ng'abba Robber Yavaawo yagenda nnyo Robber Yali mulwanyi nnamige Robber Bw'omusanga akulya emigere Robber Nga yeekeweka mu bikede Robber Emboozi ya Robber, Robber
Yakubako n'ebikonde ku Eastcoast e Naguru Yazannyako Tae-kon-do n'afuna stamina mu magulu Ng'okkola business mu gap ye obeera obaze kafu Yali jjajja w'ababbi, nga n'abato beegomba okkula babe nga ye Yamenyanga obuduukulu, n'anunula buli musibe Nga tava ku ziwanted, dead or alive Bamutwale e Luzira ku mazzi naye nga si kyangu All day all night, aba n'akabazzi Emitego gya robber, gyali nga buliri obubuguma Nga kyangu oggiyingira naye oggifuluma ofuma Ku kugulu kwe okwa ddyo, yalina ebbwa eritawona Basniper be ggwanga, baamukubanga amakupa Naye nga gonna agawona Bapoliticians abaamannya baamuwanga ssente Akole effujjo mu city, bo bazannye amatatu Omukulembeze aliko akite
Robber Nga yali ayiiya nnyo Robber Ng'obubbi bwe bususse nnyo Robber Baamukwata ng'abba Robber Yavaawo yagenda nnyo Robber Yali mulwanyi nnamige Robber Bw'omusanga akulya emigere Robber Nga yeekeweka mu bikede Robber Emboozi ya Robber, Robber
Olunaku olwana bwe lwatuuka, ebirwadde byattuka Mpaawo teyasimattuka, teyamalako ogwo omwaka Twasigala mmunyumyako, ne bahomeboys ku bbulooka Abeekubya drug Ye yatandikawo enkola y'abakyambuyi okweggyawo Nga ku mugongo baweeseeko zi-empty baaga Yalekawo amateeka, agafuga ba ghetto takers Yaleka mark enenne, yakyunya buli maka Ng'omusimattuka olina kuba Ssebadduka Ggwe, Robber Nga n'abaamaje badduka kasita oyita Robber Abaamaduuka beggala bwe balaba Robber Nga n'abayaaye badduka kasita oyita Robber Nga n'abayaaye bamutya bamuyita Robber Robber, Robber Robber
Yali mulwanyi nnamige Bw'omusanga akulya emigere Nga yeekeweka mu bikede Emboozi ya Robber