Lyrics: Shemy Hassan
Mmwe, abasinga baali bamanyi, nti time ejja kutuuka
Obwongo nga bukyuse, ntandike kkubira raps
Ku beats za Musuuza, nkyali kye kimu, ndi ku kituufu
Sikola classics, wabula nkuba music bafans
Ne bamuyita classic
Yadde siri rockstar, nfuna gigs
Nga Ryan Giggs mu Manchester United
Naye ne nsigala nga mbonga ku banyirivu n'abasiiwufu
Kye kinfuula omusuffu
Nsobola okweraga kuba ekituufu, nninawo ne kye ndaga
Naye ebyo nnasalawoo kubirekera bannambalujega
Tubala kamoome mu kasirise
Ne tumunyiga mu kimugunyu
Bw'ofuna business ky'oddako ffuna mikwano
Mmwe, mumanyi ki? mumanyi ki? mumanyi ki?
Mmwe, mumanyi ki? mumanyi ki? mumanyi ki?
Nze, ne bwe mba mu mataala
Ne bwe mba mu zi-under
Nsigala kye kimu
Seemulisa bitasaana
Mmwe, mumanyi ki? mumanyi ki? mumanyi ki?
Mmwe, mumanyi ki? mumanyi ki? mumanyi ki?
Nze, ne bwe mba mu mataala
Ne bwe mba mu zi-under
Nsigala kye kimu
Seemulisa bitasaana
Siri wano ffuna kamoome mmale nsikewo e Bulaaya
Nkyali wano nga statue
Back to back, lugaflow mukuba nga tattoo
Ate seyisaako, basexy abalina omunnyo
Nkyabakuula ebinnyo
Just neggyamu emize, egy'okusettinga up
Buli abeera ampinze
Engeri gye nnina enkola ya takisi n'eyabooda
Sisobola lemererwa kkukusa gold kuva Congo
Ku kongo ke nnina, kiba nga kuteeka verse
Ku hook ya Herbert oba Akongo
Senga mumanyi kye mmanyi, mwalisesenga kitono
Sileka bijanjaalo ku muswaki
Nga nnalidde nsumaaki
Ate sitambuza bigere
Nga nninamu ezinkubya emigere
Mmwe, mumanyi ki? mumanyi ki? mumanyi ki?
Mmwe, mumanyi ki? mumanyi ki? mumanyi ki?
Nze, ne bwe mba mu mataala
Ne bwe mba mu zi-under
Nsigala kye kimu
Seemulisa bitasaana
Mmwe, mumanyi ki? mumanyi ki? mumanyi ki?
Mmwe, mumanyi ki? mumanyi ki? mumanyi ki?
Nze, ne bwe mba mu mataala
Ne bwe mba mu zi-under
Nsigala kye kimu
Seemulisa bitasaana
Bagamba n'ebintu ebirungi, bituuka ku nkomelero
Naye eno track yo, bukyanga eva mu kkolero
Ekyabakuba mpaka leero
Abayimbi bangi, baleekanira ku beats
Mbu basoundinge hardcore
Naye ffe abalondemu, nga breakdancer ku dials
Tukyaslidinga n'enzibu, laid-back style
Kirowoozeeko, hiphop ewatali Shemy B
Gaba nga maka, omutali musajja
Ka nziremu nkibagambe: Siri emcee wa layisi
Ye nsonga lwaki music wange tali mu buli PC
Bukya nziba emiwaatwa wakati wange n'emisandwa
Kati mbeera ku tour nga sisuubirayo kumpa butwa
Okwerabira gy'ovudde, bakwerabira ng'ogudde
Buli mbwa n'olunaku lwayo, buli mbuzi ku nkondo yaayo
Buli hood ne rapper waayo
N'abankoppa sibalabisa, okuggyako okubajjukiza
Nti flow yange gye beeyambisa
Ah! Tusinzidde Mutungo Bbiina Luzira
Wamu n'e Kireka gye bitandikira
Olwo ne bibuna ensi