Lyrics: Shemy Hassan
Nze njamba bandugu, twandibadde kye kimu Abafirika
Okusinga ne bakaddugala Abamerika bwe baali ku mulembe gwa
Barrack Obama
Naye osange omuntu ng'awambye muntu munne
Abantu be basindike amaja amute oba si ekyo amutte afe
Kati Uganda yaffe, awo nno w'etuuse
Nze nno ndi ku mission kuzuukusa eri love eyedda
Eya bajjajja
Nga ne bw'osanga stranger
Enjombo ebeera emu: 'Eradde, maamu, nyooge, mirembe'
Wamma ggwe kyankuno, waakuno, amuka, zuukuka
Yimuka, tandika okucamuka, sanyuka
Luno olunaku lukwerabize ennaku
Laba buno buhome girls bwekozeeko make up ne bufuuka bwa VInka
Nga zi-not-for-sale
Bw'osanga Shemy B mu restaurant ng'ali ku bijanjaalo
Enkoko eba eweddeyo, yoo
Ebyo bye nsobodde
Tukasuka hiphop hiphop
Si kuyomba
Tukasuka dduka dduka bw'otusanga
Si kuyomba
Tukasuka hiphop hiphop
Si kuyomba
Tukasuka dduka dduka bw'otusanga
Si kuyomba
Mons Philly, oyo kyali alina vision
Naye buddeemu bumulekawo ne bujja ewange
Kyapiri gwe bulaba ku television
Bwe buntwala ku dance floor bukugu
Nga Muzungu Hunter bwe yakuguka okulya other people's money
Bitch nigga's journey
Nanti obulamu bumpi, n'okusinga omuntu owaawansi
Njamba owa Jack Pemba
Kati ali mu biwempe e kawempe
Biveemu ojje tukube omubbali
Oguddusa ne sister mu kigo n'aleka Father
Akuume ebikompe, tofuluma
Linda buzibe, okwate muzibe ku mukono muyingire omukolo
Shan shing n'abba style eyange gye batabba
Bikyani, tulye ku majaani
Nga abasama bonna bayasama
Ykee Benda oba olifa makanika bala Sheebah
Kuba ne enkumbi eyamba
Tukasuka hiphop hiphop
Si kuyomba
Tukasuka dduka dduka bw'otusanga
Si kuyomba
Tukasuka hiphop hiphop
Si kuyomba
Tukasuka dduka dduka bw'otusanga
Si kuyomba
Ha ha, yoo
Bwe tutyo bwe tukikola okuva edda
Nga Kampala tennafuuka Kampala
Waalingawo obusozi
Bwali busozi nga kuliko obusolo nga babuyita empala ha ha
Kati nga buli bw'ogendayo bakubuuza: 'Ogenda eri ku kasozi k'empala, kasozi k'empala?'
Bw'atyo bwe yafuuka Kampala
Kiri nga bw'olaba Makindye bwe twatyangayo waaliyo ekisolo nga kirya
Buli gw'otumayo ng'aggamba:
'Haa, oyagala kindye, mma! Kindye'
Ne mutungo zaali ntungo, wali eri, nga ze balima
'Ogamba eri mu ntungo, Luzira bikyani?'
Yoo, hiphop Uganda, akuze, kiwedde
Yoo