Lyrics: Shemy Hassan
Kuva dda nkikuba lwa hiphop
Era nkikola lwa hiphop
Ye nze hiphop
Nnamuttira ebiseera byange eby'obuvuka
Nnamubbira beats za barapper ab'ebulaaya
First track nnagikolera mu studio ya miggo ebiri
Saalina kkunje esasula studio ya midasita abiri
Hiphop nnamukubira hustle, bujulizi nnasiba muscle
Sifuna na leisure time, nkifabbakula full time
Nga officer on duty, mba nnina okupreachinga
Mmanyise abavubuka ekibi ekiri mu kubleachinga
Shopping sprees, Airforce one sneakers
Sikyagulira mu dozen, baphotographer
Bankuba ebifaananyi ne babiguza abazungu
Abawala baagala kunsiiga STDs
Ennaku zino nkooye, buli promoter nze gw'ayita mmuyimbire ku show ye
Basasulira mu kkooti ziggweera mu balawyer
Nkyanze hiphop entumbwe okuggwaako obwoya
Nga freestyler avudde wansi ne bafreelancer abatagoberera bya siyaasa
Nkola ekitasoboka, nkola n'ekisoboka
Naye mu kuzimba hiphop bangi ababbawo sseminti,
Kati ekizimbe kya yegeyege, ky'ova olaba mmunyeenya
Hiphop mmubanja (Hiphop num die)
Hiphop mmubanja (Hiphop num die)
Nnamutira, nnamubira, nnamukolera, nnamulwanira
Hiphop ansasula ddi?
Hiphop mmubanja (Hiphop num die)
Hiphop mmubanja (Hiphop num die)
Nnamutira, nnamubira, nnamukolera, nnamulwanira
Hiphop ansasula ddi?
Eggi eririfuuka enkoko, oliraba terinnayalulwa
Hiphop yannondayo mu underground muggyeyo
Obwongo bungi ntaddemu bagamba:
'Ne bw'oba Cute nga Kaye, bw'otaba wise nga Taye,
Weesanga ensi ekaaye', ffe abamu ku balondemu
Ebyamagero si ngero, tubikola mu buliwo
Embeera kuweweeza myoyo gy'abali eyo
Ne bwe tuliba tugenze nga industry egezze
Abazzukulu balijjula
Bw'obeera wansi, baccali bakuwa omukwano mungi
Kyokka bw'ovaayo ne bakulaga obukyayi bungi
Abantu si balungi, beetegereze bulungi
Abayimbi ba dancehall, bakikuba kufuna ssente
Kyokka aba hiphop bakifabbakula kufuna bitiibwa
Na kuvimba ku fabba, era bangi baamwesamba
Culture baagitunda (nnyo)
Hiphop mmubanja (Hiphop num die)
Hiphop mmubanja (Hiphop num die)
Nnamutira, nnamubira, nnamukolera, nnamulwanira
Hiphop ansasula ddi?
Hiphop mmubanja (Hiphop num die)
Hiphop mmubanja (Hiphop num die)
Nnamutira, nnamubira, nnamukolera, nnamulwanira
Hiphop ansasula ddi?