Nabagamba

Lyrics: Shemy Hassan Bannayuganda bateesa okunkolera car wash Mbu njende mu Bronx Banzijanjabe ekirwadde kye bayita rhyme cancer
Bakadeyideyi banneesunga everyday everyday Bakola emipango, kuggala miryango mbu nsembe bamele ebbango Shyaa, baboss, kiri too late nnakola nnamala kyaggwa Kati nkeera kutuula, bateeka mu kibbo nga bwe ntoola Minzaani eyange yatuula Mbeera mu ghetto kuba ndi ghetto, baliyo lwa nnaakola ntya Tewali kikaluba mu maaso gange, steel bender Munjambire abawala abeewulira, bajje mbawe emirimu gy'okunkuula Buli we nzira mba ne ssente mu nsawo, seggama nkuba sidduka ntalo Sambala ngoye zinkwata, seenyumyako nnyo nze siri kalango ku mpewo Shemy B
Mwana bwe nnali nzija wano nnabagamba Rhymes nnina nnyingi Temugamba nnabalimba Kati ke kaseera, tulabe era Ku nze n'abawakanya Ani muleera Mwana bwe nnali nzija wano nnabagamba Rhymes nnina nnyingi Temugamba nnabalimba Kati ke kaseera, tulabe era Ku nze n'abawakanya Ani muleera
Ebiseera we nnali ow'embwa, buli eyanneegimbamu nnamulya Music wange we yatuukira buli wamu okukira mukenenya Nnali money-minded G, awulira olulimi lumu Ssente nga bambolya abaali bacompetitor Ne kaakati bakyannenya, okubattira zicareer Naye nnatuuza near, ndiwo bbawa flavor Ngeri ya Kibonge e Tanzania Ndi wansi nnyo ku dunia 'Shemy B y'asinga', ze mboozi ennaku zino Bafans kwe banywera beer Ne bansingisa emisango naye nze ago amasappe nnagavaako nnasigala kimu, mucelebratinga bulamu N'abamu ku baccali bange, abakyali abalamu
Mwana bwe nnali nzija wano nnabagamba Rhymes nnina nnyingi Temugamba nnabalimba Kati ke kaseera, tulabe era Ku nze n'abawakanya Ani muleera Mwana bwe nnali nzija wano nnabagamba Rhymes nnina nnyingi Temugamba nnabalimba Kati ke kaseera, tulabe era Ku nze n'abawakanya Ani muleera
Lugaflow bw'aba girlfie, ndi boyfriend wa bbuba Sireka baffala mukyanguwa, ne flows ezimbowa Ntunza be ntuuza, ne mbaguza omuziki ogunyuma Gwe batagenda kuzza, abawagizi bange tebejjusa Okungeza ku Kigozi, siri mutoneetone mu EA Naye nnina ekitone, ze nnina, nzijja mu bitontome Obuwanguzi nnabufuula muze Abeemitima eminafu balowooza nti Omutonzi nnamuwa nguzi Bugiraffe bulowooza nti sikuutanga na ku nfudu Bangi bakyawakana, nti siva mu lulyo lw'abaddu Abataalya ku makoloone, mu biseera by'Abakolone Abaayoza ebyolooni nga bagezaako okusasula, loan ze bataalya Abazungu bwe bajja mu Africa tubayita balambuzi Naye ffe bwe tugenda ewaabwe, batuyita ba-immigrants Refugees, banoonyi ba bubudamu Naye kasita ffenna tuli bazzukulu ba Adam