Lyrics: Shemy Hassan
Mpuliriza Vinnie Paz, bawuliriza A Pass
Nkulidde ku Chuck D, bakulidde ku Chaka Demus
Bakuba dancehall, nga nze nkuba hiphop
Ka mbatreatinge nga malaria mu area
Yeah , yeah
Music si lutalo lwa kweragako ani asinga
Just kkuma kasigiri, kukalirira bakyangiri
Tewali mutontomi n'omu akyali mulamu
Nga nnali mmukuttemu
Bangi bakuba battle naye nze bonna mbakuba
Ne bwe beegatta kisaaganda ne banjiikira ng'enkuba
Ate ku luno ka ndabule, n'abayimbi abamu
Mwe mwalisigadde kukola nnyimba za mukwano
Zino ezoobusungu muzilekere ffe bakakensa
Abasobola okutoba ne bukeesa nga tukyassa
Mbagalamiza ku bivuga mpaka bwe mulaajana nti: 'Ayi taata saasira'
Tunaabiwulira tadduukirira nduulu
Mbatimpula balugadde, ne banyigako ne kkufulu
Okunsaba sparring, oba oyagala okusemba ng'abawala bwe baagala ssente
Ne bw'omugamba: 'Genda mu ggeyeena', akusaba transport okugenda mu nsi ya balooser naawe onsaba passport?
Nsasula akakadde, nkukubire battle
Mpa kamu kitundu, nkukubire battle
Ate bw'ompa busatu, ku olwo ngatta basatu
Abajjidde mu ngatto, baddayo bali mu sapatu
Nsasula akakadde, nkukubire battle
Mpa kamu kitundu, nkukubire battle
Ate bw'ompa busatu, ku olwo ngatta basatu
Abajjidde mu ngatto, baddayo bali mu sapatu
Ntambulira ku speed kw'otasobola kuddukira
Nnengelera wala okukusinga, ka obe n'ebinoculars
Olaga swagger ndaga class
Lugaflow si lufula naye n'abantama mbawa ebifi
Bwe bansanga nga ntema, sirina ttama,
Left right south paw mu ring nga Abdu Knuckle Abdu Ttama
Nga Joseph Mayanja, nnina ebisiraani by'okutomera obukazi obukyotala
Nga Chris Evans, ggwe abakazi abembaliga, naawe obalinamu omukisa
Mu eno game, ye ggwe wasooka okukuba rap, n'oyonoonera ku beat
Oli true definition ya kyempita obusa bw'ente
Music gw'okuba takolera manager wo ssente
Yadde olina ghostwriter
Kyokka nze, nsula ne machete
Emitwetwe ng'Ejjiini ly'Entwetwe
Enjala w'ennumira bamukwata mic mmwe be ntemako emitwe
Nsasula akakadde, nkukubire battle
Mpa kamu kitundu, nkukubire battle
Ate bw'ompa busatu, ku olwo ngatta basatu
Abajjidde mu ngatto, baddayo bali mu sapatu
Nsasula akakadde, nkukubire battle
Mpa kamu kitundu, nkukubire battle
Ate bw'ompa busatu, ku olwo ngatta basatu
Abajjidde mu ngatto, baddayo bali mu sapatu
Okay, koma awo, ntaddewo entiisa, sala awo, ndagire nga Ffalaawo
Bakutemeko omutwe, okalire awo (Ggalilaawo)
Ababadde bampita retired nga David Obua
Nnina styles empya nga kimu mu ataano ez'obbawa, tekuli n'emu ebowa
Ggwe just yasamya omumwa nkukubirewo omubbaawa
Nkusimula nga ddimuula, ddikuula
Siri wa mifumbi nga Tamale Mirundi
Hiphop beats nzikuba kyago mwe gye muyita emirundi
Ndi big deal siri dduulu ng'omuti gwa Kabakanjagala ggwe oli bitontogolo
Mpale biraka mpale bituli wakula ozannya ggogolo nze nga nteeba ggoolo
Olina flow emu ng'ekifaananyi mu fuleemu
Bwe nnyimirira mu maaso go, tosobola kuwandula nga yadde mic ewunya
Nze nkuba rap ate ggwe okuba ppuppu
(oohh, battle, battle)
Tosobola kwabika na underground emcee yenna, ng'ate ggwe osoundinga nga bedroom emcee
Ka nkuwe ensonga bbiri lwaki oyimbidde emyaka egisoba mu kkumineebiri naye catalogue yo teweza na ddakiika bbiri
Avaayo gw'olippira, ogezaako nnyo naye tosobola
Mu biseera bya Rocky Giant, naawe wali giant mu kukuba bbulooka
Kati bwe nkwata mic, ggwe olina kudda backstage nga Eddy Kenzo ku BET
Mmanyi toil clincher, line ze nkukuba, oyinza kuzitegeera nkya
Naye ka nkukube, odde mu nsozi omeditatinge
Bwe ndifa njagala kuba nga ggwe, mayiti yange ebeere nga ewunya bubi nga ggwe
Yeah Shemy B, Ebikadde Mu Bipya
Tonyumya Bryan White nga nnyuma Frank White
Ezange muziggye mu zammwe
Eno battle anthem, ka nve ne ku podium